Proverbs 10

Engero za Sulemaani

1 aEngero za Sulemaani:

Omwana ow’amagezi asanyusa kitaawe;
naye omwana omusirusiru anakuwaza nnyina.

2 bEby’obugagga ebifuniddwa mu makubo amakyamu tebirina kye bigasa,
naye abatuukirivu banunulwa okuva mu kufa.

3 c Mukama taalekenga mutuukirivu we kufa njala,
naye aziyiza abakozi b’ebibi okufuna bye beetaaga.

4 dEmikono emigayaavu gyavuwaza,
naye emikono eminyiikivu gireeta obugagga.

5Omuvubuka ow’amagezi akungulira mu biseera ebituufu,
naye oyo eyeebakira mu biro eby’okukunguliramu mwana aswaza ennyo.

6 eOmukisa gubeera ku mutwe gw’omutuukirivu,
naye akamwa k’omukozi w’ebibi kajjula obukambwe.

7 fOmutuukirivu anajjukirwanga n’essanyu,
naye erinnya ly’omubi linaavundanga.

8 gAlina omutima ogw’amagezi agondera ebiragiro,
naye omusirusiru ayogerayogera, azikirizibwa.

9 hAtambulira mu bwesimbu y’atambula emirembe,
naye akwata amakubo amakyamu alitegeerebwa.

10 iOyo atta ku liiso ng’akweka amazima aleeta ennaku,
n’omusirusiru ayogerayogera alizikirizibwa.

11 jAkamwa ak’omutuukirivu nsulo ya bulamu,
naye akamwa k’omukozi w’ebibi kajjula bulabe.

12 kObukyayi buleeta enjawukana,
naye okwagala kubikka ku bibi bingi.

13 lAmagezi gasangibwa ku mimwa gy’oyo alina okutegeera,
naye omuggo gukangavvula oyo atamanyi kusalawo bulungi.

14 mAbantu ab’amagezi batereka okumanya,
naye akamwa k’omusirusiru kaaniriza kuzikirira.

15 nObugagga bw’omugagga kye kibuga kye ekiriko ebigo,
naye obwavu kwe kuzikirira kw’omwavu.

16 oEmpeera y’omutuukirivu bulamu,
naye empeera y’omukozi w’ebibi emuleetera kubonerezebwa.

17 pOyo assaayo omwoyo eri okubuulirirwa aba mu kkubo ery’obulamu,
naye oyo atassaayo mwoyo ku kunenyezebwa aleetera abalala okuwaba.

18Oyo akisa obukyayi alina emimwa egirimba,
era omuntu akonjera, musirusiru.

19 qMu bigambo ebingi temubula kwonoona,
naye akuuma olulimi lwe aba wa magezi.

20Olulimi lw’omutuukirivu ffeeza ya muwendo,
naye omutima gw’omukozi w’ebibi gugasa katono.

21 rEbigambo by’omutuukirivu biriisa abantu bangi,
naye abasirusiru bazikirira olw’okubulwa amagezi.

22 sOmukisa gwa Mukama guleeta obugagga
era tagwongerako buyinike.

Okuwangaala Okuli mu Kutya Mukama


23 tOmusirusiru asanyukira okukola ebibi,
naye omuntu alina okutegeera asanyukira eby’amagezi.

24 uOmukozi w’ebibi ky’atayagala kirimutuukako,
naye abatuukirivu bye baagala biribaweebwa.

25 vEmbuyaga bw’ejja, abakozi b’ebibi batwalibwa,
naye abatuukirivu banywera emirembe gyonna.

26 wNg’omususa bwe gunyeenyeza amannyo, n’omukka nga bwe gubalagala mu maaso,
n’omugayaavu bw’abeera bw’atyo eri abamutuma.

27 xOkutya Mukama kuwangaaza omuntu,
naye emyaka gy’ababi girisalibwako.

28 yEssuubi ly’abatuukirivu livaamu ssanyu,
naye okusuubira kw’abakozi b’ebibi tekulivaamu kantu.

29 zEkkubo lya Mukama kye kiddukiro ky’abatuukirivu, naye abakozi b’ebibi libasaanyaawo.

30 aaAbatuukirivu tebajjululwenga ennaku zonna,
naye abakozi b’ebibi tebalisigala mu nsi.

31 abAkamwa k’omutuukirivu koogera eby’amagezi,
naye olulimi olwogera eby’obubambavu lulisalibwamu.

32 acEmimwa gy’omutuukirivu gyogera ebisaanidde;
naye emimwa gy’omukozi w’ebibi gyogera eby’obubambavu.
Copyright information for LugEEEE